[1] Mulabe Kitaffe bwe yatwagala ne tuyitibwa abaana ba Katonda, era ddala bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya, kubanga naye teyamumanya.
[2] Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda. Kye tuliba tekinnamanyika, kyokka tumanyi nti bw'alirabika, tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw'ali.
[3] Era buli muntu asuubira bw'atyo mu Kristo, yeetukuza nga Kristo bw'ali omutukuvu.
[4] Buli akola ekibi, aba mujeemu, kubanga ekibi bwe bujeemu.
[5] Mumanyi nga Kristo yalabika, alyoke aggyewo ebibi, era nga mu ye temuli kibi.
[6] Buli muntu abeera mu ye, takola kibi. Buli akola ekibi, oyo talabanga era tamanyanga Kristo.
[7] Baana bange, waleme kubaawo ababuzaabuza. Akola eby'obutuukirivu, mutuukirivu nga Kristo bw'ali omutuukirivu.
[8] Akola ekibi, oyo wa Sitaani, kubanga okuviira ddala olubereberye Sitaani mwonoonyi. Omwana wa Katonda kyeyava alabika azikirize ebikolwa bya Sitaani.
[9] Buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga obulamu bwa Katonda buba buli mu ye. Tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
[10] Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Sitaani kwe balabikira: buli muntu atakola bya butuukirivu, wadde atayagala muntu munne, si wa Katonda.
[11] Kino kye kigambo kye mwawulira okuva olubereberye, nti tuteekwa okwagalananga.
[12] Tuteekwa obutaba nga Kayini eyali ow'Omubi, n'atemula muganda we. Era yamutemulira ki? Yamutemula, kubanga ebikolwa ebibye byali bibi, ebya muganda we nga birungi.
[13] Abooluganda, temwewuunyanga ensi bw'ebakyawanga.
[14] Ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala bantu bannaffe. Atalina kwagala aba akyali mu kufa.
[15] Buli muntu akyawa muntu munne, mutemu. Ate mumanyi nga tewali mutemu alina bulamu obutaggwaawo.
[16] Ku kino kwe tumanyira okwagala: Kristo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Naffe tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe ku lw'abantu bannaffe.
[17] Kale omuntu alina ebyobugagga obw'oku nsi n'alaba muntu munne ng'ali mu bwetaavu, n'atamuyamba, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?
[18] Baana bange, tuleme okwagalanga mu bigambo ne mu lulimi mwokka, naye tubenga n'okwagala kwennyini okulabikira mu bikolwa.
[19] Ku kino kwe tunaamanyiranga nti tuli ba mazima, n'emitima gyaffe ne gitutereera mu maaso ga Katonda,
[20] kubanga emitima gyaffe ne bwe gitulumiriza, tuba tumanyi nti Katonda mukulu okusinga emitima gyaffe, era amanyi byonna.
[21] Abaagalwa, emitima gyaffe bwe gitatulumiriza, tuba bagumu mu maaso ga Katonda,
[22] era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye, era tukola ebimusanyusa.
[23] Era kino kye kiragiro kye nti tukkirize Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga Kristo bwe yatulagira.
[24] Bonna abakwata ebiragiro bya Katonda babeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu bo. Era kwe tumanyira ng'ali mu ffe, ye Mwoyo gwe yatuwa.