[1] Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa yange eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza okuba n'endowooza eteriimu bukuusa,
[2] mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe.
[3] Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe,
[4] nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!”
[5] Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago.
[6] Amazzi ago era ge gaasaanyaawo ensi ey'edda, n'ezikirira.
[7] Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa.
[8] Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu.
[9] Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye.
[10] Naye Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lulijja ng'omubbi. Ku olwo eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro, era ensi n'ebigikolerwako birisirikka.
[11] Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa,
[12] nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro.
[13] Kyokka nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira eggulu eriggya n'ensi empya, omuli obutuukirivu.
[14] Kale abaagalwa, nga bwe mulindirira ebyo, mufube, Mukama abasange nga muli mirembe mu maaso ge, nga temuliiko bbala wadde akamogo.
[15] Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
[16] Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira.
[17] Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde.
[18] Naye mukule nga muyambibwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, nga mweyongera okumumanya. Yennyini aweebwenga ekitiibwa, kaakano n'emirembe gyonna. Amiina.