[1] Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mugezenga emyoyo, mulabe oba nga giva eri Katonda, kubanga abalanzi ab'obulimba bangi basaasaanye ne bajja mu nsi.
[2] Omwoyo ogwa Katonda mugumanyiranga ku kino: ayatula nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri, oyo alina omwoyo oguvudde eri Katonda.
[3] Buli muntu agaana okwatula ekyo ku Yesu Kristo, talina mwoyo guvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo. Mwawulira nti gujja, era kaakano gwatuuka dda mu nsi.
[4] Baana bange, mmwe muli ba Katonda era mwawangula abalanzi ab'obulimba, kubanga oyo ali mu mmwe asinga nnyo oyo ali mu nsi.
[5] Bo ba nsi, kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawuliriza.
[6] Ffe tuli ba Katonda. Amanyi Katonda, atuwuliriza. Atali wa Katonda, tatuwuliriza. Ku ekyo kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu.
[7] Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli muntu alina okwagala, yazaalibwa Katonda, era amanyi Katonda.
[8] Atalina kwagala, aba tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwe kwagala.
[9] Ku kino Katonda kwe yalagira bw'atwagala: yatuma mu nsi Omwana we omu yekka, tulyoke tube balamu ku bw'oyo.
[10] Mu kino mwe muli okwagala: si kugamba nti ffe twayagala Katonda, wabula ye yatwagala, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.
[11] Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala, naffe tuteekwa okwagalana.
[12] Tewali yali alabye Katonda; kyokka bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, era okwagala kwe kuba kutuukiridde mu ffe.
[13] Tumanyi nga tuli mu Katonda, era nga naye ali mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo we.
[14] Era ffe twalaba era tutegeeza abalala nti Kitaffe yatuwa Omwana we okuba Omulokozi w'ensi.
[15] Buli ayatula nti Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye abeera mu Katonda.
[16] Era ffe tumanyi era tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwe kwagala, era oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
[17] Mu kino okwagala kuba kutuukiridde mu ffe, tulyoke tube bagumu ku lunaku olw'okusalirwako omusango, kubanga ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno.
[18] Mu kwagala temuli kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya. Okutya kweraliikirira ekibonerezo, era oyo atya aba tannatuukirira mu kwagala.
[19] Ffe tulina okwagala kubanga Katonda ye yasooka okutwagala.
[20] Omuntu bw'agamba nti: “Njagala Katonda”, ate n'akyawa muntu munne, aba mulimba, kubanga atayagala muntu munne gwe yali alabyeko, tayinza kwagala Katonda gw'atalabangako.
[21] Era tulina ekiragiro kino kye yatuwa nti: ayagala Katonda, ayagalenga ne muntu munne.