[1] Nze Simooni Peetero omuweereza era omutume wa Yesu Kristo, mbawandiikira mmwe abaafuna okukkiriza okw'omuwendo ennyo, nga ffe kwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe, era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
[2] Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa era n'okubawa emirembe, nga mweyongera okumumanya era n'okumanya Yesu Mukama waffe.
[3] Mukama waffe oyo, mu buyinza bwe nga Katonda, yatuwa byonna bye twetaaga mu bulamu ne mu kumuweereza, nga tumanyi oyo eyatuyita okugabana ku kitiibwa kye ne ku bulungi bwe.
[4] Mu byo mwe yatuweera ebirabo ebinene era eby'omuwendo ennyo bye yatusuubiza, olw'ebirabo ebyo, muwone okuzikirira okuli mu nsi, okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwakatonda bwe.
[5] Kale musseeyo nnyo omwoyo, ku kukkiriza kwammwe mwongereko ebikolwa ebirungi, ku bikolwa ebirungi mwongereko okumanya,
[6] ku kumanya mwongereko okwefuga, ku kwefuga mwongereko okugumiikiriza, ku kugumiikiriza mwongereko okussaamu Katonda ekitiibwa,
[7] ku kussaamu Katonda ekitiibwa mwongereko okwagalana ng'abooluganda, ku kwagalana ng'abooluganda mwongereko okwagala abantu bonna.
[8] Ebyo bwe muba nabyo ne byeyongera obungi, biribafuula ba mugaso, era abakola ebikolwa ebirungi mu kumanya Mukama waffe Yesu Kristo.
[9] Atalina ebyo, alaba kumpi, era muzibe awunaawuna, era aba yeerabidde ng'ebibi bye eby'edda byamusonyiyibwa.
[10] Kale abooluganda, mweyongerenga okufuba ennyo okunywerera mu kuyitibwa kwammwe, ne mu kulondebwa kwammwe. Bwe mukola bwe mutyo, tewali kiribasuula.
[11] Olwo muliyingizibwa n'ekitiibwa mu Bwakabaka obutaggwaawo, obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
[12] N'olwekyo, ebyo njija kubibajjukizanga bulijjo, newaakubadde nga mubimanyi, era nga munyweredde mu mazima ge mwafuna.
[13] Era ndowooza nti nga nkyali mulamu, kituufu okubakubirizanga nga mbajjukiza,
[14] kubanga mmanyi nga nnaatera okweyambula omubiri guno, nga Mukama waffe Yesu bwe yantegeeza.
[15] Njija kukola kye nsobola, okubateerawo ebiribasobozesa okujjukiranga ebyo buli kaseera, nze nga mmaze okufa.
[16] Bwe twabategeeza obuyinza bwa Mukama waffe Yesu Kristo n'okujja kwe, tetwayogera ngero ezaayiiyizibwa, wabula ekitiibwa kye twakirabirako ddala n'amaaso gaffe.
[17] Twaliwo nga Katonda Kitaffe amuwa ekitiibwa n'ettendo, eddoboozi bwe lyava mu Kitiibwa Ekinene, ne limwogerako nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.”
[18] Eddoboozi eryo, ffe ffennyini twaliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.
[19] N'olwekyo tweyongedde okufuna obukakafu ku ebyo abalanzi bye baayogera. Musaanidde okubissaako omwoyo, kubanga biri ng'ettaala eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde lwe bulikya, emmunyeenye ey'oku makya n'eyaka mu mitima gyammwe.
[20] Okusookera ddala, mutegeere kino nti buli kigambo ky'abalanzi ekyawandiikibwa, tewali ayinza kukinnyonnyola ku bubwe yekka,
[21] kubanga tewali mulanzi yali alanze nga yeeyagalidde, wabula abalanzi baayogeranga ebiva eri Katonda, nga Mwoyo Mutuukirivu ye aboogeza.