[1] Kaakano neegayirira abo abakulembeze mu mmwe. Nange ndi mukulembeze munnaabwe, eyalabirako ddala ku kubonyaabonyezebwa kwa Kristo, era abalirwa mu abo abaligabana ku kitiibwa ekigenda okulabika. Mbeegayirira,
[2] mulunde eggana lya Katonda eryabakwasibwa. Mulirabirire nga Katonda bw'ayagala, si lwa buwaze, wabula nga mwagala. Mukole n'omwoyo ogwewaayo okuweereza, nga temululunkanira kufuna mpeera.
[3] Muleme kwefuula bafuzi b'abo be mwakwasibwa, naye mube kyakulabirako gye bali.
[4] Olwo omusumba omukulu bw'alirabika, muliweebwa engule eyeekitiibwa etefuma.
[5] Nammwe abavubuka muwulirenga abakulu. Mwenna muweerezaganenga nga mujjudde obwetoowaze, kubanga “Katonda tayagala beekulumbaza, kyokka abeetoowaze abakwatirwa ekisa.”
[6] Kale mwetoowazenga wansi w'omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, ye alyoke abagulumize ekiseera nga kituuse.
[7] Mumukwasenga byonna ebibeeraliikiriza, kubanga ye abalabirira.
[8] Mwegendereze era mutunule. Omulabe wammwe Sitaani, atambulatambula ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya.
[9] Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi nti ne baganda bammwe abali mu nsi yonna, babonaabona nga mmwe.
[10] Bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, Katonda nnannyini kisa, eyabayita okugabana awamu ne Kristo ku kitiibwa kye ekitaggwaawo, ye yennyini alibazza mu mbeera ennungi, alibanyweza, era alibawa amaanyi.
[11] Oyo abe n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
[12] Mbawandiikidde ebbaluwa eno ennyimpi nga nnyambibwako Siluvaano owooluganda, gwe mmanyi nga mwesigwa. Ngibawandiikidde nga mbakakasa nti ekyo kye kisa kya Katonda kyennyini, era nga mbakuutira okukinywereramu.
[13] Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Babilooni, nakyo ekyalondebwa Katonda nga mmwe, kibalamusizza. N'omwana wange Mariko naye abalamusizza.
[14] Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. Emirembe gibenga nammwe mwenna aba Kristo.