[1] Kale mulekenga ettima lyonna, n'obulimba bwonna, n'obukuusa, n'obuggya, n'okwogera obubi kwonna.
[2] Ng'abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata amalungi agagasa omwoyo, mulyoke muganywe mukule era mulokolebwe.
[3] Ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Mwalega ku bulungi bwa Mukama.”
[4] Mujje gy'ali. Ye lye jjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery'omugaso ennyo.
[5] Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.
[6] Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Nalonda ejjinja ery'omuwendo, kati lye nteeka mu Siyooni, libe ekkulu ery'entabiro. Era amukkiriza taliswazibwa”
[7] Ejjinja lino lya muwendo nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abo abatakkiriza: “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, eryafuuka ekkulu ery'entabiro.”
[8] Era nti: “Lye jjinja abantu kwe beekoona; lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa.
[9] Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa. 2:14; Yis 9:2
[10] Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde.
[11] Abaagalwa, muli bagenyi abayita obuyisi mu nsi muno. Mbeegayirira mwewale ebyo omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo.
[12] Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako.
[13] Ku bwa Mukama, muwulire buli kiragiro eky'abo abalina obuyinza, oba kabaka alina obuyinza obw'oku ntikko,
[14] oba abafuzi abalala b'atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n'okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
[15] Katonda ayagala mukole ebikolwa ebirungi, musirise abantu abasiru era abatalina kye bamanyi.
[16] Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okuyisa obubi, wabula mulikozese ng'abaweereza ba Katonda.
[17] Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu abafuzi ekitiibwa.
[18] Abakozi muwulirenga bakama bammwe, mubassengamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi era abakwatampola, naye n'abo abakambwe.
[19] Kya mukisa omuntu bw'abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n'agumiikiriza ng'alowooza ku Katonda.
[20] Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima.
[21] Ekyo kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mumugoberere.
[22] Ye takolanga kibi, tayogeranga bya bukuusa.
[23] Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda asala omusango nga tasaliriza.
[24] Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku musaalaba, tulyoke tufe eri ekibi, tube balamu mu butuukirivu. Ebiwundu bye, bye byabawonya.
[25] Mwali muwabye ng'endiga, naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.