[1] Bakama b'abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe, nga muli benkanya, nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
[2] Munyiikirenga okusinza Katonda, nga temuddirira, era nga mumwebaza.
[3] Era naffe mutusabirenga, Katonda atuggulirewo oluggi, tutegeeze abantu ekigambo kye, tubamanyise ekyama kya Kristo. Era ekyo kye kyansibisa mu kkomera.
[4] Munsabire nkitegeeze abantu mu ngeri yennyini gye nsaana okukibategeezaamu.
[5] Abo abatannafuna kukkiriza, mukolaganenga nabo n'amagezi, nga mukozesa buli mukisa gwe mulina.
[6] Bulijjo mwogerenga mu ngeri enyuma era esanyusa, era mumanyenga engeri gye musaana okwanukulamu buli omu.
[7] Tukiko owooluganda omwagalwa, omuweereza omwesigwa era mukozi munnaffe mu mulimu gwa Mukama waffe, ajja kubategeeza byonna ebyantuukako.
[8] Kyenvudde mmutuma gye muli, mumanye nga bwe tuli, era agumye emitima gyammwe.
[9] Era awamu naye, ntumye Onesimo owooluganda era omwagalwa, ow'ewammwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno.
[10] Arisitaruuko musibe munnange, ne Mariko omujjwa wa Barunaba babalamusizza. Mariko oyo, gwe nabagambako. Bw'ajjanga gye muli mumwanirizanga.
[11] Ne Yesu, ayitibwa Yusto, abalamusizza. Abo be bokka ab'omu bakomole abakola nange omulimu ogw'Obwakabaka bwa Katonda, era abanzizizzaamu ennyo amaanyi.
[12] Epafura ow'ewammwe, omuweereza wa Kristo Yesu, abalamusizza. Era bulijjo abasabira nnyo, mube batuukirivu, abategeeredde ddala Katonda by'ayagala.
[13] Nkikakasa nti Epafura, mmwe awamu n'ab'omu Lawodiikiya, era n'ab'omu Yerapoli, abakoleredde nnyo.
[14] Lukka omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.
[15] Mulamuse abooluganda ab'omu Lawodiikiya. Era mulamuse Nunfa, n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya.
[16] Ebbaluwa eno bw'emala okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. Era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodiikiya.
[17] Era mugambe Arikipo nti: “Fuba okutuukiriza omulimu gwa Mukama waffe gwe wakwasibwa.”
[18] Nze Pawulo, nze mpandiise n'omukono gwange okulamusa kuno. Munzijukire mu busibe bwange. Katonda abakwatirwenga mmwe ekisa.