[1] Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo ku lwammwe, ne ku lw'abo ab'omu Lawodiikiya, era ne ku lw'abo bonna abatandabangako.
[2] Ekyo nkikola, emitima gyabwe giryoke gisanyuke, nga bassa kimu mu kwagalana, bategeerere ddala era bamanyire ddala ekyama kya Katonda. Ekyama ekyo ye Kristo.
[3] Mu ye mwe mukwekeddwa amagezi gonna, n'okumanya kwonna.
[4] Ekyo nkibategeeza, waleme kubaawo ababuzaabuza, ng'akozesa ebigambo ebisendasenda.
[5] Newaakubadde nga siri nammwe mu mubiri, naye ndi wamu nammwe mu mwoyo, era nsanyuka okulaba nti mutebenkedde, nga muli banywevu mu kukkiriza Kristo.
[6] Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mwegatte wamu naye mu bulamu bwammwe.
[7] Munywerere ddala mu ye, era mukulire mu ye, nga muli banywevu mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, era temukoowanga kwebaza.
[8] Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo.
[9] Ddala mu Kristo, obwakatonda bwonna mwe buli.
[10] Era ye akulira abafuzi n'ab'obuyinza bonna. Nammwe mu ye mwe mwafunira obulamu obujjuvu,
[11] era mwakomolerwa mu ye. Temwakomolebwa bantu, wabula Kristo ye yabakomola, ng'abambulamu embeera yammwe etetabagana na Katonda.
[12] Bwe mwabatizibwa mwaziikibwa wamu ne Kristo, era mu kubatizibwa mwazuukira wamu naye olw'okukkiriza obuyinza bwa Katonda eyamuzuukiza.
[13] Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna.
[14] Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.
[15] Ku musaalaba ogwo kwe yawangulira abafuzi n'ab'obuyinza, n'abaggyako ebyokulwanyisa, n'abaswaza mu lwatu.
[16] Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato.
[17] Ebyo byonna kifaananyi bifaananyi eky'ebyo ebigenda okujja. Naye ekirimu ensa ye Kristo.
[18] Walemenga kubaawo babalimbalimba, nga beesigama ku kwewombeeka okw'obulimba, ne ku kusinza bamalayika, nga beesiga okulabikirwa okutaliimu. Abantu abo beekulumbaliza bwereere olw'ebirowoozo byabwe eby'abantu obuntu,
[19] era baba tebakyali ku Kristo omutwe, aliisa omubiri gwonna, n'agatta ennyingo n'ebinywa byagwo, ne gukula nga Katonda bw'ayagala gukule.
[20] Mwafiira wamu ne Kristo ne muwona obuyinza bw'emisambwa, obufuga ensi. Kale lwaki ate muyisa ng'abakyafugibwa ensi, ne mukkiriza okuweebwa ebiragiro nga bino:
[21] “Tokwatanga ku kino; tokombanga ku ekyo; kiri tokikoonangako”?
[22] Ebyo byonna okubikola, tekiriiko kye kigasa. Okwo kuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza okw'abantu obuntu.
[23] Weewaawo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri y'okusinza Katonda, abantu gye beegunjirawo bokka, ne mu kwewombeeka okw'obulimba, era ne mu kubonereza omubiri. Naye tebiriiko kye bigasa mu kufuga okwegomba kw'omubiri.