Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:26

[1] Nze Omukadde mpandiikira Gaayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.

[2] Omwagalwa, nsaba Katonda obeere bulungi mu byonna, era obeere mulamu mu mubiri, nga bw'oli mu mwoyo.

[3] Nasanyuka nnyo abooluganda bwe bajja ne boogera nti onyweredde ku mazima, era nti g'otambuliramu.

[4] Tewali kinsanyusa ng'okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

[5] Omwagalwa, oli mwesigwa mu byonna by'okolera abooluganda, ne bwe baba nga bagenyi bugenyi.

[6] Abo baategeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ku kwagala kwo. Onooba okoze bulungi okubakulembera ne batambula nga basaanidde Katonda,

[7] kubanga beesowolayo olwa Kristo, ne bagaana okuweebwa ekintu n'ekimu okuva mu batakkiriza.

[8] N'olwekyo tusaanidde okuyamba abantu ng'abo, tulyoke twetabe mu mulimu ogw'okubunyisa amazima.

[9] Nawandiikira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, naye Diyotireefe olw'okululunkanira okuba omukulu waabwe, takkiriza bye ŋŋamba.

[10] Bwe ndijja kyendiva mmuvunaana olw'ebikolwa bye by'akola, ng'atwogerako ebigambo ebibi. Era ebyo tebimumala, wabula abooluganda ye yennyini tabaaniriza; ate n'abo abaagala okubaaniriza abaziyiza, n'abagoba ne mu kibiina ky'abakkiriza Kristo.

[11] Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula gobereranga ekirungi. Akola ekirungi, oyo aba wa Katonda. Akola ekibi, oyo aba talabanga Katonda.

[12] Demetiriyo bonna bamwogerako bulungi, era kye boogera kya mazima. Era naffe tumwogerako bulungi, ate omanyi nga ffe kye twogera kiba kya mazima.

[13] Mbadde na bingi eby'okukuwandiikira, naye ssaagala kukuwandiikira na kafumu na bwino.

[14] Nsuubira okukulaba amangu, olwo tulyogeranya akamwa n'akamwa.

[15] Emirembe gibe naawe. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa buli omu ku mikwano gyaffe.