Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:15

[1] Nze Omukadde, mpandiikira Omukyala Omulonde wa Katonda, era mpandiikira n'abaana be, be njagala mu mazima; sso si nze nzekka, naye n'abo bonna abamanyi amazima babaagala,

[2] olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe.

[3] Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe oyo, batukwatirwenga ekisa, batusaasirenga, era batuwenga emirembe mu mazima ne mu kwagala.

[4] Nasanyuka nnyo kubanga nasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga Kitaffe bwe yatulagira.

[5] Era kaakano, nkwegayirira, Nnyabo, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya, wabula ekyo kye twalina okuviira ddala olubereberye, nti twagalanenga.

[6] Okwagala kitegeeza kugobereranga biragiro bya Katonda. Ekiragiro ekyo, nga bwe mwakiwulira okuviira ddala olubereberye, kye kino nti mwagalanenga bulijjo.

[7] Abalimbalimba bangi abaasaasaana mu nsi. B'ebo abatakkiriza nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri. Omuntu ali ng'abo, mulimba, era mulabe wa Kristo.

[8] Mwekuume, muleme kufiirwa kye mwateganira, wabula mufune empeera yammwe enzijuvu.

[9] Buli muntu asukka ku ebyo Kristo by'ayigiriza, era atabinywererako, talina Katonda. Oyo abinywererako, alina Kitaffe ne Mwana.

[10] Bwe wabangawo ajja gye muli nga tazze n'ebyo Kristo by'ayigiriza, temumwanirizanga mu maka gammwe, era temumulamusanga.

[11] Amulamusa, assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi.

[12] Newaakubadde nnina bingi eby'okubawandiikira, naye ssaagala kubiteeka ku lupapula ne bwino, wabula nsuubira okujja gye muli, twogeranye akamwa n'akamwa, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

[13] Abaana ba muganda wo, omulonde wa Katonda, bakulamusizza.